OMUKULEMBEZE we Kibiina kya National Unity Platform NUP era nga yesimbyewo ku bwa Pulezidenti Robert Kyagulanyi Sentamu ku manday ayingindde Disitulikiti ye Mukono mu maanyi nga mu kiseera kino ayolekera Kayunga ne Buikwe.
Kyagulanyi Mukono agiyingiridde mu bitundu bye Kyampisi, Kalagi, Nakifuma olwo nayolekera Kayunga, bwanamala okwogerako n’abantu be Kayunga ayolekere Buikwe nga ayitira mu bitundu bye Kangulumira okutuuka ku Nile awo ayingire Buikwe Town Council, asale adde e Nkokonjeru, Kisoga asembeyo ne Kibuga kye Mukono.
Ono ayaniriziddwa Ssentebe wa NUP mu Mukono era nga ye Mubaka wa Munisipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke saako n’abeesimbyewo ku kaadi ya NUP bonna mu Mukono.
Abantu bangi beeyiye ku makubo naye nga mu kiseera kino wabadde tewanabaawo fujjo lyonna ku side ya bantu ne Poliisi nga bwe kibadde mu bitundu ebilala.
Mu kiseera kino atuuse mu kibuga kye Nakifuma era nga wano ayaniriziddwa eyesimbyewo ku kaadi ya NUP Omulangira Ssimbwa wakula Ennume nga ono Kyagulanyi amulaze abantu era nabasaba bamulonde.
Abantu bangi nnyo abamuwerekera buli watuuka saako n’okumwaniriza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com